Proverbs 5

Okulabula ku Bwenzi

1 aMutabani, ossangayo omwoyo eri ebiragiro byange,
era owulirizanga bulungi ebigambo byange eby’amagezi,
2olyoke oyige okusalawo okw’amagezi,
era akamwa ko kavengamu eby’obutegevu.
3 bKubanga emimwa gy’omukazi omwenzi gitonnya omubisi gw’enjuki,
n’ebigambo bye biweweevu okusinga omuzigo;
4 cnaye enkomerero ya byonna, akaawa ng’omususa
era asala ng’ekitala eky’obwogi obubiri.
5 dEbigere bye bituuka mu kufa,
ebisinde bye biraga emagombe.
6 eTafaayo ku kkubo lya bulamu,
amakubo ge gaakyamakyama dda, naye nga takimanyi.

7 fKaakano, batabani bange mumpulirize,
temuvanga ku bigambo bya kamwa kange.
8 gMwewalenga omukazi oyo
era temusembereranga luggi lwa nnyumba ye;
9si kulwa nga mufiirwa ekitiibwa kyammwe,
n’okumalira ebiseera byammwe ku oyo alina ettima,
10ate si kulwa nga b’otolina ky’obamanyiiko bakwavuwaza,
n’amaanyi go n’ogamalira ku maka g’omulala.
11Ku nkomerero y’obulamu bwo olisinda,
ennyama yo n’omubiri gwo nga biweddewo.
12 hOligamba nti, “Nga nakyawa okulabulwa,
n’omutima gwange ne gukyawa okunenyezebwa,
13era ne sigondera ddoboozi ly’abasomesa bange,
wadde okussaayo omwoyo eri abo abampanga amagezi.
14Ntuuse ku njegoyego z’okuzikirira
nga ndi wakati mu kuŋŋaaniro ly’ekibiina.”

Obuvunaanyizibwa n’Essanyu mu Bufumbo

15Onoonywanga amazzi ag’omu kidiba kyo,
n’amazzi agava mu luzzi lwo goonoonywanga.
16Ensulo zo zisaanye okukulukutira mu nguudo,
n’enzizi zo mu bifo ebigazi eby’omu kibuga?
17Leka bibeere bibyo wekka,
bireme kugabanibwako b’otomanyiiko n’akamu.
18 iKale leka ensulo yo ebeere n’omukisa,
era osanyuke ne mukazi wo ow’omu buvubuka bwo.
19 jNg’ennangaazi eyeeyagaza n’empeewo esanyusa,
leka okusuuta kwe kukumalenga ennaku zonna era naye akwetoloozenga okwagala kwe.
20Lwaki mwana wange osendebwasendebwa omukazi omwenzi,
n’ogwa mu kifuba ky’omukazi w’omusajja omulala?

21 kKubanga Mukama alaba amakubo g’omuntu gonna,
era n’akebera n’amakubo ge gonna.
22 lEbikolwa by’omukozi w’ebibi bimufuukira omutego,
era emiguwa gy’ebikolwa bye ebibi girimusibira ddala.
23 mAlifa, kubanga yagaana okwekuuma,
era alizikirira olw’obusirusiru bwe obungi.
Copyright information for LugEEEE